Psalms 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

1 aOmponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 babateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 cEbigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

4 dOnkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 eAbantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.

6 fNagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 gAyi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 hAyi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

9 iAbanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
zibeekyusizeeko baboneebone.
10 jAmanda agaaka omuliro gabagwire;
basuulibwe mu muliro,
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 kTokkiriza balimba kweyongera bungi;
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 lMmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 mAbatuukirivu banaakutenderezanga,
era w’oli we banaabeeranga.
Copyright information for LugEEEE